ABAWALA: J.Nakawala, P.Nangonzi, S.Naamala, A.Nampeera
ABALENZI: J.Ssenyonga, S.Mbabazi, J.Sebatindira, S.Nsereko

Musaayimuto Joseph Sebatindira y’omu ku bazannyi omunaana abaayiseewo okukiikirira eggwanga mu mpaka za Africa ezinabeerayo mu March w’omwaka guno mu kibuga Accra e Ghana.

Sebatindira ow’emyaka omwenda nga muyizi y’akyasinze obuto ku bazannyi omunaana abaayiseewo nga bayita mu mpaka ez’ategekeddwa ku MTN Arena e Lugogo ku Ssande.

Mu ngeri y’emu ne munne Sharif Nsereko ow’emyaka 11 bwe bazannya mu Nakasero Primary School yayiseewo oluvannyuma lw’obuwanguzi bwe yafunye ku Ssande.

Nsereko nga naye azannyira Nakasero Primary School yawangudde Benjamin Achuma owa Ndejje University mu luzannya olwabadde olwa vvaawompitewo.

Omwaka oguwedde mu November, Sebatindira yakola erinnya bwe yawangula empaka za World Table Tennis Youth Contender tournament e Cairo mu Egypt.

Mu mpaka zino yawangula enzannya zonna musanvu nga takubiddwamu era mu fayinolo yawangula Hussein Eyad owa Misiri obugoba 3-0. Mu mwaka gwe gumu Ssebatindira ng’ali wamu n’abazannyi abalala abakulu ku ttiimu ya Uganda, yeetaba mu mpaka za Africa Club Championships e Kenya era yakuba omuzannyi okuva mu Ethiopia olwo Uganda n’efuna omudaali gwa Feeza mu mpaka zino.

Abalala abaayiseewo kuliko Jemimah Nakawala, Parvin Nangonzi, Shanita Naamala ne Amina Nampeera mu bawala ate mu balenzi kuliko Jonathan Ssenyonga, Sam Mbabazi Ankunda ne Sharif Nsereko.

Okusinziira ku Robert Jjagwe akulira Uganda Table Tennis Association, abazannyi bano baakutandika okutendekebwa mbagirawo okwetegekera empaka za Africa.

rnalujja@ug.nationmedia.com

REGINA NALUJJA

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *