Ttiimu ya Kampala Queens esuubirwa okusisinkana She Maroons e Luzira. EKIFAANANYI KYA: R.NALUJJA.

FUFA WOMEN SUPER LEAGUE
LWAMUKAAGA
UCU Lady Cardinals vs Rines SS
SSANDE
Kampala Queens vs She Maroons
Wakiso Hill vs Lady Doves
Asubo Gafford Ladies vs Kawempe Muslim

Ku Ssande eno, ekibanyi kyakugwa n’amenvu nga kkiraabu ez’enjawulo ezizannyira mu liigi y’eggwanga ey’abakyala, Fufa Women Super League zittunka ku bisaawe eby’enjawulo okwetooloola eggwanga.

Ku Philip Omondi e Lugogo, ye waasuubirwa omupiira ogw’akaasaammeeme nga bakyampiyoni ba sizoni ewedde aba Kampala Queens, battunka ne She Maroons.

She Maroons y’emu ku kkiraabu ezaali zitasuubirwa kuteekawo mbeera y’amaanyi sizoni eno wabula we tutuukidde olwaleero nga bali mu kifo kyakusatu era tebanakubwamu mupiira gwonna bukyanga sizoni etandika okuggyako okukola amaliri mu mipiira egy’enjawulo.

Bbo aba KQ sizoni eno ekyabakaluubiridde era balwana kulaba nga baggyayo Kawempe Muslim Ladies ku ntikko y’ekimeeza. Bano bajja mu mupiira gwa Ssande nga baakamala okukuba Lady Doves ggoolo 2-0 mu mupiira gwabwe ogusembyeyo so nga yo She Maroons yakakkana ku Makerere University Ladies n’egikuba ggoolo 3-0 e Luzira.

KQ era ebadde yaakamala okuta omuteebi Fazila Ikwaput eyeegasse ku kkiraabu ya Gokulam Kerala mu India.

Wabula omutendesi Charles Ayiekoh agamba nti okugenda kwa Ikwaput tekuyina ngeri gye kugenda kukosaaamu ttiimu ye kubanga basobodde okufuna obubonero nga taliiwo.

Ayiekoh oluvannyuma lw’okufuna obuwanguzi bwe obwasoose ku kkiraabu eno wiiki ewedde, ategeezezza ng’abazannyi bwe batandise okutegeera ennono ye era nga kijjakutwala akaseera katono nnyo KQ eddemu okuwamba liigi.

Mu mipiira emirala egigenda okuzannyibwa, Asubo Gafford Ladies ne gye buli eno ekyanoonya buwanguzi busooka mu sizoni eno nga tebanawangulayo mupiira gwonna bukyanga sizoni eno eddamu. Ku Ssande eno, bagenda kukyaza Kawempe, ekyeriisa enkuuli wabula nga batutegeezezza nga bwe batagitidde.

editorial@ug.nationmedia.com

Sharifah Nambi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *