BYA REGINA NALUJJA
rnalujja@ug.nationmedia.com
ROUND OF LAST 16
LWAMUKAAGA, JANUARY 27
Nigeria vs. Cameroon
SSANDE, JANUARY 28
Eq. Guinea vs. Guinea
MMANDE, JANUARY 29
Cape Verde vs. Mauritania
Empaka za Africa Nations Cup (Afcon) ezibumbujjira wano mu ggwanga lya Ivory Coast tezisosola. Buli asumagira amaliriza ali mu maziga.
Oluvannyuma lw’emipiira 36, kati amawanga wasigadde 16 gokka agakyavuganya ku kikopo ky’omwaka guno. Abamu ku banene bali ttale era abatendesi abasinga bali ku bunkenke.
Abatendesi bagobwa
Ye Tom Saintfiet omutendesi wa Gambia yalekuliddewo ku Lwokubiri oluvannyuma lw’eggwanga lye okuwanduka mu mpaka nga bakubiddwa emipiira gyonna mu kibinja.
Olwo Djamel Belmadi owa Algeria naye ogugwe guli mu lusuubo oluvannyuma lw’okusemba mu kibinja D.
Algeria, bakyampiyoni bya 2019, baakola amaliri ga 1-1 ne Angola, 2-2 ne Burkina Faso ate Mauritania yabakubye 1-0 mu gw’asembyeyo mu kibinja.
Belmadi kati awanduse mu bibinja mu Afcon ebiri eziddiringana ate eggwanga ly’alemwa okutuuka mu mpaka za Fifa World Cup ya 2022.
Algeria si yeeyoka eri ettale. Omunene omulala ye Ghana. Bano nabo baakoze ensobi nnyingi mu kuzibira okukakana nga bawanduse mu mpaka n’obubonero bubiri bwokka.
Ye Chris Houghton omutendesi wa Ghana n’abamumyuuka bonna bagobeddwa anti ne bano bawandukidde mu bibinja omulundi ogwokubiri ogw’omuddiringanwa mu Afcon.
Abatono bakanze abanene
Ekisinze okwewuunyisa abantu mu nsi yonna ku mpaka zinno z’ettiimu ezitali z’amannya manene. Equatorial Guinea yakulembedde ekibinja A n’obubonero musanvu nga muno mwabaddemu n’okuswaza abategesi aba Ivory Coast 4-0 ku Mmande.
Mu kibinja B, Cape Verde yakulembedde Misiri ne Ghana ku bubonero musanvu nayo ate mu kibinja D, Angola yakulembedde Burkina Faso ne Algeria.
Omupiira mu Africa gugenda gukyuuka wabula banantamegwa aba Senegal bo bakyasongeddwamu olunwe okweddiza ekikopo kino.
Senegal wansi wa Aliou Cisse mu kibuga kya Yamoussoukro, yawangudde emipiira gyaayo gyona; 3-0 ku Gambia, 3-1 ku Cameroon ne 2-0 ku Guinea. Bano beeboka abamazeeko ebibinja ku bubonero mwenda mu mpaka zonna.






Et veniam possimus voluptatum voluptatem excepturi qui. Unde eum ut architecto veritatis quia deserunt incidunt consequatur. In fugiat voluptatem porro distinctio deleniti quod labore. Ipsam quibusdam inventore enim molestiae ducimus perspiciatis omnis. Eos repellat enim qui sit eaque maiores.