
Peace Proscovia ye muzannyi wa netball asinga ettutumu mu Uganda, naye tubadde tutandise okumwerabira, anti abadde takyakiika mu mpaka nnene.
Mu mpaka za Commonwealth Games 2022, emipiira egisinga teyagizannya kubanga teyali ffiiti bulungi, ate mu World Cup 2023 teyakiikira ddala. Naye mu mpaka za Netball Test Series e Bungereza ne Nations Cup, nga si muzannyi wabula ajja kukola ng’omumyuka w’omutendesi Fred Mugerwa.
Gano mawulire malungi nnyo kubanga Peace alina obumanyirivu bungi mu kazannyo kano. Ate ng’abazannyi kumpi bonna abazannya netball ku mulembe guno beegomba Peace.
Omuzannyi ono eyali mu NIC Netball Club, ye Munnayuganda eyasooka okuzannyira e Bulaaya bwe yeegatta ku Loughborough Lightning mu 2015. Yunivasite y’emu yagiwa ne ssikaala asome ddiguli eyookubiri mu bya bbizineesi.
Bwe yava e Bungereza yeegatta ku Sunshine Coast Lightning mu Australia, mu liigi eyamuwa ensimbi eziwera.
Peace muteebi mulungi naye ke twafuna Mary Nuba, enzaalwa ya South Sudan, tulabika twafuna omusika. Nuba, eyasikira Peace mu Loughborough, ggoolo aziteeba bulungi, ate agumye. Naye obukulembeze n’obumanyirivu bwa Peace tubadde tubwetaaga nnyo era bwe bubbulukukira mu butendesi, kiba kirungi nnyo. Amaze emyaka nga ye kapiteeni wa She Cranes, era siwuliranagyo yeemulugunya ku bukulembeze bwe. Ne mu biseera eby’okusoomooza, nga bwe baagoba Mugerwa ng’ebula nnaku bagende mu World Cup ya 2015, Peace yayimirira ne banne okukungubagira omutendesi eyali nga kitaawe.
Peace alina ssente n’erinnya naye tasitula bitoji. Ekyo nakyo kirungi okukoppa eri abazannyi baffe. Mu Commonwealth Games 2022, Peace we yatandikira okulaga nti ayinza okuyigirira obutendesi. Kati ke kaseera ayongere okukinoza. Tunaaba tuli awo nti baamuwadde omukisa yeeyongere abangulwe. Ate awo si w’anaava afune ne kkiraabu gy’atendeka? Awo ajja kuba yeeyubudde bulungi.
assemugabi@ug.nationmedia.com

