ABAWALA: J.Nakawala, P.Nangonzi, S.Naamala, A.Nampeera ABALENZI: J.Ssenyonga, S.Mbabazi, J.Sebatindira, S.Nsereko Musaayimuto Joseph Sebatindira y’omu ku bazannyi omunaana abaayiseewo okukiikirira eggwanga mu mpaka za Africa ezinabeerayo mu March w’omwaka guno mu kibuga Accra e Ghana. Sebatindira ow’emyaka omwenda nga muyizi y’akyasinze obuto ku bazannyi omunaana abaayiseewo nga bayita mu mpaka ez’ategekeddwa ku MTN Arena e Lugogo...


