Bulijjo mu mpaka z’emizannyo emingi okugeza Olympics, Commonwealth, African Games, ebikonde n’emisinde gye mizannyo egikyasinze okuwangulira Uganda emidaali. Okugeza mu Olympics emidaali gya Uganda
e 11, okuli ne zzaabu nnya, gyonna giva mu bikonde na misinde ate nga Uganda ekiik ku mizannyo emirala ng’okuwuga, okusitula obuzito, n’ emirala.

Mu African Games, ezaali ziyitibwa All African Games, ku midaali gya Uganda e 87, (zzaabu 22, ffeeza 21, 44 gyakikomo), egisinga givudde mu misinde na bikonde.

Naye sizoni mu mpaka eziyindira mu Accra, Ghana, omudaali gwe twasooka okufuna gwali gwa kuwuga, ogwa mwanamuwala Gloria Muzito mu mmita 100.

Twazaako Fadilla Shamika, owa badminton, eyawangula ogwekikomo, ne tuzzaako Husina Kobugabe ne Gladys Mbabazi, abaawangula zzaabu asooka mu badminton mu byafaayo bbya Uganda. Kobugabe yayongerako ne
ffeeza. Davis Niyoyita, ow’obuzito. Twabadde tukyali awo nga ne Charles Kagimu agasseeko zzaabu w’ obugaali.

We twogerera nga tuli mu midaali 12 omugatte, ng’ ogasseeko egy’ ebikonde esatu, ne ffeeza wa Halima Nakaayi, omuddusi. Naye nze nsinze kusanyukira midaali egivudde mu mizannyo nga badminton, okuwuga n’
obugaali. Kino kiraga nti emizannyo emirala nagyo gitandise okusituka, ekitegeeza nti Uganda bw’egenda bw’eti esobola okuvuganya ku mizannyo egiwera.

Wabula badminton, obugaali n’okuwuga okutuuka wano kivudde ku bazannyi kwetaba mu mpaka ziwerako. Twagala kituuke ne mu mizannyo emirala.

ABDUL-NASSER SSEMUGABI

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *