Ebula wiiki bbiri zokka empaka z’emisinde gy’okujaguza amazaalibwa gwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ag’omulundi ogw’e11 zigguke .
Ne kumulundi guno, empaka zino zaakutambulira ku mulamwa ogw’okukomya obulwadde bwa ssiriimu obutasukka mwaka gwa 2023.
Mu mulamwa guno kati ogumaze emyaka etaano nga kwe kutambulira emisinde gino, abasajja era bakubirizibwa okubeera abasaale mu kulaba ng’omwana ow’obuwala ataasibwa ekirwadde kya ssiriimu.
Okusinziira ku mumyuuka wa kattikiro owookubiri Robert Waggwa Nsibirwa, mu myaka etaano, emisinde gyino gikoze kinene mu kukendeeza akawuka ka mukenenya mu disitulikiti za Buganda ez’enjawulo.
Abaddusi baakusimbulwa mu Lubiri e Mengo era emisinde gyino ng’ogyeeko okuyambako okulwanisa akawuka ka mukenenya, girina n’omulamwa omulala ogw’okukuuma abantu nga balamu bulungi mu mubiri.
Kuno kwossa ne bannamikago ab’enjawulo okukungaanira awamu okuyambako mu kutereeza embeera y’obulamu bw’abantu.
Ku mulundi guno kkampuni ya Daily Monitor wansi wa Nation Media Group be bamu ku bawomye omutwe mu mpaka z’emisinde zino.
Wiiki eno, ezimu ku wofiisi za kkampuni eno ezisangibwa ku Airtel House ku Wampewo Avenue zaatongozeddwa ng’ekimu ku bifo awagenda okutundirwa emijoozi wamu n’ebirala ebigenda okukozesebwa abaddusi.
Maneja wa Nationmedia Group Susan Nsibirwa yategeezezza nti musanyufu okuba nga kkampuni eno yeegasse ku balala okulaba nga beetaba mu misinde egyigenda okuyambako okutereeza obulamu bw’abantu mu bitundu
eby’enjawulo.
Nga bulijjo emijoozi gy’emisinde gyino gya Shs20,000.

