Manchester United ku Ssande eno yaakuttunka ne Tottenham mu lutalo olw’okulaba nga esenvula okuva mu kifo ekyomunaana okudda waggulu mu liigi. Bano era batunuulidde n’okwesasuza Tottenham eyabakuba ggoolo 2-0 e London nga liigi y’akatandika. Yo Tottenham eri mu kifo kyakutaano mu liigi era zinadda okunywa nga ttiimu zombi zinoonya okudda ku mwanjo. Mu mulala Man...


