Peace Proscovia ye muzannyi wa netball asinga ettutumu mu Uganda, naye tubadde tutandise okumwerabira, anti abadde takyakiika mu mpaka nnene. Mu mpaka za Commonwealth Games 2022, emipiira egisinga teyagizannya kubanga teyali ffiiti bulungi, ate mu World Cup 2023 teyakiikira ddala. Naye mu mpaka za Netball Test Series e Bungereza ne Nations Cup, nga si muzannyi...


