Uganda Cranes yakukozesa akaseera kano nga liigi z’e Bulaaya ziwumuddemu okuttunka mu nzannya ez’omukwano bbiri.

Olunaku lw’enkya Uganda yakuttunka ne Comoros ate nga wayise ennaku nnya baakuzannya ne Morocco. Enzannya zombi zaakubeera ku kisaawe kya Stade Grande Marrakech e Morocco.
Omutendesi Paul Put bwe yali aweebwa omulimu, yalagibwa okutereeza ttiimu era kino kirabika ky’agezaako okukola. Ono ayise abazannyi abapya nga n’abamu bava mitala w’amayanja mu ngeri eraga nti abakanye
n’ogwokutereeza Uganda Cranes. Soma emboozi gyetukuleetedde ku nzannya za Uganda Cranes.

Empaka za African Games zikyagenda mu maaso e Ghana era ttiimu ez’enjawulo zitaddewo okuvuganya okwamanyi.

Omuvuzi w’obugaali Charles Kagimu ye yatuuse dda kuno oluvannyuma lw’okuwangula omudaali gwa zaabu. Mu wiiki ssatu ono agenda Bulaaya okwetaba mu mpaka ez’enjawulo.

Omuddusi Halima Nakaayi yafunye omudaali gwa Ffeeza mu mpaka za Africa ate n’abeebikonde kati wetwogerera emidaali gy’ekimo esatu gyibalimu ttaano.

Bino n’ebirala ebikwata ku mpaka zino tubikuleetedde mu mboozi z’abasasi baffe ez’enjawulo.Tukuleetedde n’emboozi endala nnyingi mu mizannyo gy’awano omuli n’ensero.

Omukugu waffe mukuddamu ebibuuzo ne kumulundi guno twakwerabidde. Aba bbeetingi nabo bakuteebedde emipiira mingi . Tukusaba obeekwate oleme okwejjusa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *