Ayokya nga lyanda. Hary Kane yalaze nti sizoni ye esose ebweru wa Bungereza yakutteyo. Yaakateebera Bayern Munich ggoolo 31 mu mipiira 26 sizoni eno.

We twasembera okukola emboozi eno mu November 2023, Omungereza Harry Kane, owa Bayern Munich, yali akulembedde banne ku ggoolo 17. Serhou Guirassy, owa Stuttgart,
yalina ggoolo 15. Wano twali tukuba ttooci mu bateebi abayinza okusinga ggoolo mu liigi za Bulaaya ennene mu kuvuganya ku European Golden Boot.

Engatto eno ebadde yeefugiddwa Lionel Messi ne Cristiano Ronaldo, ssaako Diego Forlan, Luis Suarez, Thierry Henry n’abalala.
Emyezi ena egiyiseewo, Guirassy asseemu, olw’ ensonga ezitali zimu, naye ye Kane ayongeddeko ggoolo 14, era kati abamugoba atandise okubakuba enfuufu.

Kane abadde mukambwe mu Premier League naye nga tatera kuweza ggoolo 30. Naye kati alina 31
mu mipiira 26 gyokka. Musuubira okuweza ggoolo 40, nga Robert Lewandowski ze yateeba nga tannava mu Bayern.

Yaakateeba ‘hat-trick’ nnya ate wakyabulayo emipiira munaana. Bagamba Kane alina ekisiraani ky’ obutawangula bikopo, naye eno engatto kirabika mulogo y’anaagimulemesa.
Kylian Mbappe – 24 goals

Bukya yeegatta ku Paris Saint-Germain mu 2017 ng’ava mu Monaco azze kuba ggoolo ezitakka wansi wa 24 buli sizoni.

Kyokka yaakateeba ggoolo 30 omulundi gumu (lwe yakuba ggoolo 33 mu 2018-19) era tannawangula ku European Golden Shoe.

Sizoni eno yaakateeba ggoolo 24. Essatu ku zzo yazikubye Montpellier ku wiikendi. Ekitegeeza nti Kane amubuzaako mukaaga zokka. Wabula omutendesi Luis Enrique
atandise okumuwumuza mu mipiira gya liigi egimu.

Kino kitegeeza wadde French Ligue 1 erimu emipiira 38, Bundesliga 34, Mbappe ayinza obutafuna mukisa kuyunga Kane. Lautaro Martinez – 23

Martinez teyabadde ku ffoomu era yalemeddwa ppenati nga Atletico Madrid ewandula Inter mu Champions League naye okuva Serie A lwe yatandika.

Waliwo lwe yakuba Salernitana ggoolo nnya. Tuutuno tubuzaayo emipiira mwenda naye alina ggoolo 23.

Oluvannyuma lw’ okuwangula World Cup ne Argentina alina ffoomu gy’ atafunangako. Baali baagala kuzza Romelu Lukaku naye abakungu ku San Siro bakasizza nti
Martinez ye mutuufu.

Wabula alina okukola ennyo kubanga Kane gw’ agoba amusing ggoolo musanvu nnamba; ate ali ku ffoomu. Serhou Guirassy – 22

Ono y’avuganya Kane ku ngatto ya Bundesliga. Obuvune bumuli bubi naye era oluwonamu ng’ ateeba. Ku wiikendi yateebye bbiri nga Stuttgart ekuba Hoffenheim 3-2.

Yaakateeba ggoolo 22 mu mipiira 20. Wabula alina kusaba wabeewo ekiremesa Kane kubanga ye wadde Bayern ekikopo aringa etakiriiko, ye Kane takoowa kuteeba. Ate alina n’okusaba Mbappe ne Martinez nabo basala ku ssipiidi. Singa
omuzannyi ono enzaalwa ya Guinea awangula Golden Boot, afuuka Omufirika asoose okugitwala.

ABDUL-NASSER SSEMUGABI

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *