
Manchester United ku Ssande eno yaakuttunka ne Tottenham mu lutalo olw’okulaba nga esenvula okuva mu kifo ekyomunaana okudda waggulu mu liigi.
Bano era batunuulidde n’okwesasuza Tottenham eyabakuba ggoolo 2-0 e London nga liigi y’akatandika. Yo Tottenham eri mu kifo kyakutaano mu liigi era zinadda okunywa nga ttiimu zombi zinoonya okudda ku mwanjo.
Mu mulala Man City nayo eyalindiggulwa ekigwo okuvva ku ntikko y’ekimeeza enoonya kukomawo. Bano bakyalidde Newcastle United ku Lwomukaaga ku St James’ Park era balina okukola ennyo okulaba nga bakomawo.
Ensitaano ez’enjawulo mu liigi eno tuzikuleetedde. Mu ngeri y’emu n’ekitundu ekisooka mu Uganda Premier League kyawedde era tukulombojedde biki ebibadde eruuyi eyo wamu n’okutangaaza ku ngeri kkiraabu ez’enjawulo bwe ziyimiridde.
Ttiimu y’eggwanga ey’okubaka nayo eri Bungereza gy’egenda okuzannyira Test Series ne Wales olwo emale ettunke ne Bungereza, New Zealand ne Australia. Ebiri oludda olwo nabyo tubyolese bulungi.
Liigi y’ensero naye egenda kutandika ate nga n’eyomupiira gw’abakyaala ekyakwajja.
Tukuleetedde n’emboozi edala nnyingi. Mu ngeri y’emu omukugu waffe mu kuddamu ebibuuzo naye takwerabidde. Bo aba bbeetingi nga bulijjo bakuteebedde emipiira mu liigi ez’enjawulo. Beekwate osobole okufuna ku kassente.

