BYA ABDUL-NASSER SSEMUGABI
assemugabi@ug.nationmedia.com

ENSISINKANO
Villarreal 3-4 Barcelona
Villarreal 0-1 Barcelona
Barcelona 3-0 Villarreal
Barcelona 0-2 Villarreal
Villarreal 1-3 Barcelona

Barcelona yeenaazizzaako ennaku y’okukubwa Real Madrid 4-1 mu fayinolo ya Spanish Super Cup, bwe yamezze Real Betis 4-2 mu La Liga n’edda mu kyokusatu ku bubonero 44.
Athletic Bilbao, eyabadde mu kyokusatu yakubiddwa Valencia 1-0 ne kiwa Barcelona ekyanya newankubadde Atletico Madrid yakubye Granada 1-0, yasigadde mu kyakuna ku bubonero 41. Kati omutendesi Xavi Hernandez yafunye ku buweerero kubanga yazudde ebipya mu ttiimu ye, anti ng’oggyeeko obuwanguzi, enzannya ya Ferran Torres, eyateebye ggoolo essatu, kyalaze nti Robert Lewandowski wadde akyalemeddwa okudda ku ffoomu, ggoolo zisoboka okuteebwa abalala.
Singa tekiba kya lumu, Villarreal, eri mu ky’e 14, teyinza kukaluba kubanga ne mu byafaayo Barcelona y’erina enkizo. Mu nsisinkano 49 eziseembyeyo ewanguddeko 31, Villarreal munaana ate 10 maliri. Mu kugabana emipiira gino gitera okubaamu ggoolo 3.29.
Ne mu mipiira etaano egisembyeyo okusisinkana Barcelona ewanguddeko ena, Villarreal gumu, nga ne lwe zaasemba okuttunka nga August 27, 2023, Barcelona yalumba Villarreal n’egikuba 4-3.
Barcelona terina balwadde bapya naye Joao Cancelo alina okuzannya nga yeegendereza obutafuna kkaadi ya kyenvu kubanga yaakafuna nnya.
Yeremy Pino, Ramon Terrats, Alfonso Pedraza ne Dani Parejo tebajja kuzannyira Villarreal kubanga balwadde. Ate Kiko Femenia alina okuzannya nga yeegendereza obutafuna kkaadi ya kyenvu kubanga yaakafuna nnya.
Mu mirala, Real, eyookubiri ku bubonero 51, eyagala kukuba Las Palmas, eyoomunaana, esobole okuwondera Girona, ekulembedde ku bubonero 51. Girona yo ekyaza Celta Vigo, ey’e 16 ng’enoonya okwenywereza ku ntikko. Atletico ekyaza Valencia.
Omungereza Jude Bellingham abadde yeetisse abateebi okuva sizoni eno lwe yatandika, naye Artem Dovbyk owa Girona, amwenkanya ggoolo 14. Wabula Dovbyk, enzaalwa ya Ukraine, asingako kubanga akozesa eddakiika ntono okuteeba ggoolo emu.
Borja Mayoral, owa Getafe ne Alvaro Morata, owa Atletico balina 13. Antoine Griezmann, owa Atletico alina 11. Gerard Moreno, owa Villarreal ne Ante Budimir, owa Osasuna, balina mwenda.
Robert Lewandowski, owa Barcelona, ne Inaki Williams, owa Athletic Bilbao, Gorka Guruzeta, owa Athletic Bilbao, Mikel Oyarzabal, owa Real Sociedad ne Hugo Duro, owa Valencia, balina munaana.
Rodrygo, owa Real ne Jørgen Strand Larsen, owa Celta Vigo, Alexander Sørloth, owa Villarreal, Cristhian Stuani, owa Girona, Ferran Torres, owa Barcelona, balina musanvu. Willian Jose, owa Betis, Takefusa Kubo, owa Real Sociedad, Bryan Zaragoza, owa Granada ne Myrto Uzuni, aba Granada, balina mukaaga.

BoldThemes

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *