Ngoba nsonga
January 19, 2024 ye yabadde nsaleesale w’okuwaayo enkalala z’amannya g’abazannyi n’abatendesi abasuubirwa okwetaba mu 1st World Olympic Qualifiers ezinaabeera mu Busto Arsizio, Yitale okutandika nga February 29.
Oluvannyuma lw’obusengejja bwa ssemazinga zonna: Africa, Asia, Oceania, Bulaaya, South America ne North America, kati ensi zinoonya kujjuza bifo ebyo mwe zitannafuna bazannyi.
Buli nsi erina omukisa gwa bazannyi 13. Abasajja musanvu, abakazi mukaaga. Naye Uganda tennayisaawo n’omu. Mu kasengejja ka Africa akaali e Senegal, mu September, Bannayuganda abataano bonna baavaayo buggo.
Kati guno gwe mukisa gwe tulina okuddamu okunoonya ttiketi etutwala mu Olympics za Paris 2024. Naye sirabawo kitambula. Moses Muhangi agamba Uganda Boxing Federation yawaddeyo olukalala lwa mannya 26 mu Uganda Olympics Committee, ekwasaganya enteekateeka zino naye takakasa oba National Council of Sports enaabawa ssente okutegeka ttiimu.
Muhangi agamba ssaawa zino wandibaddewo empaka z’okugezesa abazannyi bano 26, nga tebannayingira mu nkambi naye tawulira kanyego.
Mbu n’empaka za East African Games, ezaandikubyewo ekiraka, tebajja kuzeetaabamu, kubanga NCS teyabatadde ku ttiimu zinaakiika e Rwanda, wadde ng’ebikonde byawangula emidaali mingi mu 2018 e Burundi lwe zaasooka okubaawo.
Wano we nneebuuliza: ddala Uganda enaakiika mu Olympic Qualifiers, oba tukkirize nti ku luno tulemeddwa okukiika mu Olympics omulundi ogusooka okuva mu 2010? Ntiddemu.
Omukungaanya:
Swaib Raul Kanyike
Abasensuzi: Twaha Mukisa, Abdul-Nasser Ssemugabi, Regina Nalujja


Doloribus veniam qui quisquam. Voluptatem porro in magni. Voluptatem et doloribus voluptatum cupiditate itaque molestiae dicta quae.
Quaerat et deserunt tempore laboriosam iure suscipit libero quia. Impedit doloribus sed error quae debitis voluptas. Natus dolor sapiente beatae et et explicabo. Et totam et ea ut commodi voluptatem nulla quas.
In aliquam rerum sunt eligendi cum et dolorem. Expedita repellendus aut totam inventore dolores.
Ut aut sint fugiat cupiditate dolor. Explicabo dignissimos et modi et facilis harum. Iusto consequatur nihil aspernatur ipsum atque.