ABALI MU MIGWA LEERO KKIRO 71
Muzamir Semuddu (Uganda) vs Omar

Elawady (Misiri) KKIRO 54
Amina Martha Faki (Kenya) vs Shukura

Kareem (Nigeria) Emyaka 17 egyakayita okuva omulwanyi okuva mu East Africa lwe yawangula omudaali gwa zzaabu mu mpaka za African Games. Okuva olwo abazannyi okuva mu Uganda, Kenya, Tanzania bazze bagwa omutindo, mu bikonde
nga n’okuwangulayo omudaali gw’ekikomo (bronze), mu mpaka ezirimu amawanga agawera, guba mukisa.

Mu 2007 African Games ezaali mu Algiers, Algeria, Kenya ly’eggwanga lya East Africa lyokka eryatuusa omuzannyi mu semi. Dan Shisia ne Joshua Ndere baakoma ku gyakikomo naye munnaabwe Suleiman Bilali yawangula zzaabu bwe
yakuba Manyo Plange, owa Ghana mu fayinolo ya light flyweight.

Kyokka ne bwe tudda waka, Bannayuganda lwe baasemba okuwangula zzaabu mu mpaka zino Semuddu yali tannazaalibwa.
Abdul Tebazaalwa ne Muhammad Kizito, gwe baakazaako Sande Swico, be baasemba okuwangulira Uganda zzaabu mu 1999 African Games mu Johannesburg, South Africa. Okuva olwo n’ okutuuka ku fayinolo bibadde bizibu, okutuusa
mu 2019 Games ezaali mu Rabat, Morocco, Isaac Masembe ne David Ssemuju lwe baatuuka ku fayinolo. Baali ku ffooomu, era nga beesunze okumenya ekkoligo lino naye baakoma ku ffeeza bwe bombi bwe
baakubwa. Kati ekkoligo liwezezza emyaka 25. Semuddu alina 22.

Ng’oggyeeko ebyafaayo bizibu, Semuddu n’omuzannyi gw’asanze muzibu. Omar Elsayed Elawady, ye muzannyi omu ku Bamisiri abasatu abagenda okukiika mu Paris 2024 Olympics, nga mu Africa bali 18 bokka.
Okutuuka wano, Elsayed yakubagana kutuuka ku fayinolo n’awangula ne zzaabu mu African Olympic Qualifiers ezaali mu Dakar, Senegal mu September 2023. Semuddu ye teyali nayo, kubanga
yali yaakava mu African Confederation Championships, e Yaounde, Cameroon ate nga takoze bulungi.Ye Elsayed azze akubagana, alina obumanyirivu bungiko ate nga bw’omanyi Abawarabu aba alina
enkizo ku Semuddu. Mu mpaka zino yaakakuba babiri: Hamza El Barbari, owa Tunisia, ne Fredrick Kiwitt, owa Liberia.

Semuddu naye ku luno ayokya: yaasooka kusabula Holonou Akoussan, owa Togo, mu laawundi esooka, n’ azzaako Henry Malm, owa Ghana 4-3 nga bamaze okwetegereza olulwana olukambwe, anti abazannyi bombi baali ku ffoomu.

Kati tubalinze. Semuddu alina okweraliikirira okusinziira ku byatuuse ku banne: Erina Namutebi, Innocent Amoko ne Owen Kibira, abaakubiddwa ku Lwokubiri ekiro ne basubwa emidaali.

Ate eggulo twalese Innocent Tumusiime ne Kasim Murungi beetegekera semi zaabwe, gattako Ezra Mwanjwango, owa Tanzania ne Edwin Owuor, owa Kenya, abaabadde balina omukisa okwesogga fayinolo, balabe oba bayinza
okumenya likodi ya 2007. Leero Munnakenya Amina Martha Faki, attunka ne Shukura Kareem, owa Nigeria, mu semi ya kkiro 54

ABDUL-NASSER SSEMUGABI

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *