Bagenda kwegwako. Musaayimuto Jamal Musiala owa Bugirimaani ne Kylian Mbappe owa Bufalansa bagenda kunoonyeza ttiimu zaabwe ggoolo
EGYA WIIKENDI
EURO 2024 QUALIFIER
LWAKUNA, MARCH 21
Georgia vs. Luxembourg (Ssaawa 2.00)
Wales vs. Finland (Ssaawa 4.45)
EGY’OMUKWANO LWAKUTAANO, MARCH 22
Norway vs. Czech Rep. (Ssaawa 2.00)
Netherlands vs. Scotland (Ssaawa 4.45)
LWAMUKAAGA, MARCH 23
Ireland vs. Belgium (Ssaawa 2.00)
England vs. Brazil (Ssaawa 4.00)
MMANDE, MARCH 25
Cyprus vs. Serbia (Ssaawa 2.00)
LWAKUBIRI, MARCH 26
England vs. Belgium (Ssaawa 4.45)
Empaka za Uefa Euro 2024 zibulako emyezi esatu okutandika
wabula ebifo byonna 24 tebinatwalibwa.
Ebulako ttiimu ssatu ezirina okuyita mu kakungunta ka ‘play-offs’ mu z’okusunsulamu wiikendi eno nga ttiimu 12 zezivuganya ku bifo bino.
Bano bagenda kw’ekuba mu ‘semi’ mukaaga olwo wabeewo fayinolo ssatu mu makubo asatu.
PATH A
Poland vs. Estonia
Estonia yeemu ku ttiimu ezisinga obutono mu maanyi mu zisigadde mu mpaka zino wabula Poland ebadde ku mutindo wansi w’omutendesi Michał Probierz.
Ono yafuna omulimu mu September 2023 era tebakubiddwa mu mipiira ena okubadde n’okukuba Faroe Islands ne Latvia.
Estonia yo tewangudde mupiira gwona okuva mu January 2023 nga emipiira giwera 11 era bakubiddwaako mwenda ate bateebye ggoolo nnya zokka. Bano basisinkana ku Stadion Narodowy e Warsaw ku Lwokuna ng’omuwanguzi
asisinknana Finland oba Wales.
Wales vs. Finland
Wales tekubiddwa mu mipiira omukaaga egisembyeyo era banoonya okukuuma omutindo nga basisinkanye Finland ku Cardiff City Stadium ku Lwokuna
Ate, Finland elemeddwa okukuba Wales mu nsisinkana ennya ezisembyeyo okuva 2013. Finland yakusubwa Robert Taylor ng’ono omuzannyi wa Inter Miami alina obuvune.
Kitegeeza bagya kwesigama ku Teemu Pukki okufuna amaggoolo era ono yeetabye mu ggoolo 17 mu mipiira 18 gy’okusunsulamu kwa Euro egisembyeyo
PATH B
Bosnia-Herzegovina vs. Ukraine
Ukraine singa yayitamu dda wabula bano basubwa olw’enjawulo ya ggoolo ku Yitale. Naye kati batunulidde okukiika mu Euro omulundi ogwokuna ogw’omuddiringanwa singa bayita ku Bosnia-Herzegovina ku Bilino Polje Stadium e Zenica
olwo ne Israel oba Iceland singa bayitawo.
Bosnia-Herzegovina mu bibinja yawangulako emipiira esatu ku 10 mu kibinja J. Mu lusisinkana olusembyeyo, Ukraine yakuba Bosnia-Herzegovina 2-0 e Zenica ne ggoolo za Oleksandr Zinchenko ne Artem Dovbyk.
Israel vs. Iceland
Israel ne Iceland basisinkana Budapest e Hungary aba Yisiirayiri banoonya okukiika omulundi ogusooka. Yo Iceland enoonya kuyitamu kutuuka mu Euro gwakubiri oluvannyuma lwa 2016. Israel erina
obuzibu bunene olw’obuvune bwa Manor Solomon ate Iceland yafuna obubonero 10 bwokka mu mipiira 10 gy’ekibinja J. Iceland esibidde ku Jón Thorsteinsson n’omuteebi Andri Gudjohnsen, mutabani wa
Eidur, ng’ono sizoni eno ateebye ggoolo munaana mu liigi ya Denmark ne Lyngby BK.
PATH C
Georgia vs. Luxembourg
Georgia ewulira akaseera katuufu omupiira gwaabwe okusituka anti balina emunyeenye ezisitukidde awamu. Bano bakulembebwa Khvicha Kvaratskhelia azannyira Napoli naye Luxembourg eri mu kubo lyaabwe. Fayinolo ebateeka ku Buyonaani oba Kazakhstan.
Luxembourg yakubwa emipiira esatu gyoka ku 10 mu kibinja omwaali Portugal ne Slovakia mu kibinja J.
Greece vs. Kazakhstan
Greece ejjukirwa okuwangula Euro ya 2004 nga teri yali abasubiira wabula bawangudde omupiira gumu mu Euro bbiri eza 2008 ne 2012. Bano okuddayo mu mpaka zino omulundi ogusooka mu myaka 12 naye Kazakhstan yeeri mu kubo e
Athens ku Lwokuna.
Buyonaani yamalira mu kifo kyakusatu emabega wa Bufalansa ne Budaaki era bafuna obubonero 13 mu mipiira munaana okwaali amaliri ga 2-2 ne Bufalansa.
Kazakhstan yakanga Denmark ewaayo okuwangula 3-2 mu kibuga Astana mu kibinja H era bano bakwegendereza.
Kazakhstan tekiikangako mu mpaka nene naye bano bawangudde emipiira musanvu ku kkumi egisembyeyo.
FRANCE VS. GERMANY
EGISEMBYEYO BUFALANSA
Řecko 2-2 France
France 14-0 Gibraltar
France 4-1 Scotland
Netherlands 1-2 France
Germany 2-1 France
BUGIRIMAANI
Austria 2-0 Germany
Germany 2-3 Turkey
Mexico 2-2 Germany
USA 1-3 Germany
Germany 2-1 France
ENSISINKANA
Germany 2-1 France
France 1-0 Germany
France 2-1 Germany
Germany 0-0 France
Germany 2-2 France
1 X 2
1.83 3.80 4.10
Recommended bet Away to score NO 2.65:1
Stats provided by FORTEBET

