Jimmy Enabu owa City Oilers ng’agezaako okuyita ku Joel Lukoji owa KIU. EKIF. KYA JOHN BATANUDDE.

Egisookawo
KIU Titans vs Nam Blazers
Livingstone vs JT Jaguars

Nga wasigadde wiiki bbiri zokka liigi y’eggwanga ey’omuzannyo gw’ensero, National Basketball League eddemu okutojjera, ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga Fuba kyaddaaki kifulumizza olukalala lw’enzannya ezigenda okuzannyibwa mu luzannya olusooka olwa regular season.

KIU Titans, abaamalira mu kifo ekyokubiri sizoni ewedde be bagenda okuggulawo ne Nam Blazers ng’ennaku z’omwezi 26 omwezi guno e Lugogo. Kinnajjukirwa nti wadde nga Nam Blazers yakola bulungi mu regular season, bano baagaana okuzannya ‘playoffs’ era liigi ne bagisuulawo oluvannyuma lwa Fuba okukabatema ng’awangula liigi sizoni eyo bwe yali tagenda kukiika mu BAL olwo ne balonda City Oilers eyali ewangudde sizoni ey’emabega.

Kati bano bakomyewo era we twogerera, bazzeemu okutendekebwa ku Abuja Park e Naalya nga beetegekera sizoni y’omwaka guno. Nga kkiraabu endala eziri mu katale, Nam Blazers olunaku lw’eggulo, Lwakusatu yakakasizza nga bwe baamalirizza okukansa omuzannyi Michael Ngut gwe baggye mu City Oilers, bakyampiyoni ba sizoni ewedde.

Ngut, munnansi wa South Sudan y’omu ku bazannyi abaali ab’enkizo ennyo mu City Oilers sizoni ewedde era kyenkana mu buli luzannya lwe yanzannya ku ezo omwenda yasobola okuteebayo ensero 10 wamu n’okukolera bane waakiri emikisa 3.

Kati ono ye muzannyi owookusatu aba Nam Blazers gwe bakakansa mu katale k’omulundi guno oluvannyuma lw’okuleeta Joseph Chuma ne Daniel Gaaki gye buvuddeko.

Aba Nam Blazers mpozzi ne KIU Titans gye bagenda okuggulawo nayo be bamu ku batunuuliddwa ennyo okukomya ejjoogo lya City Oilers nga ku mulundi guno kyandibanguyira oluvannyuma lw’abadde omutendesi wa City Oilers, Mandy Juruni okubaabuulira ku nkomerero y’omwaka oguwedde.

Sharifah Nambi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *