Abazannyi ba Arua Hill abaali mu gwa Kitara.

Oluvannyuma lw’emipiira 15, StarTimes Uganda Premier League egenda mu luwummula ekomewo ku ntandikwa y’omwezi ogujja. Bingi ebikutte abalabi omubabiro wabula nga bulijjo, Ennyanda ekuggyiddeyo ebyo ebisinze okukola amawulire.

Arua Hill ekkirira
Bangi baagwa mu mukwano ne Arua Hill ng’eyingidde mu UPL sizoni bbiri eziyise olw’engeri gye yali ekola ebintu byayo. Yali ttiimu etakaaba mu by’ensimbi, yagula abasambi abamanyirivu n’efuna n’omutendesi Livingstone Mbabazi eyabaleetera ekifo ekyokuna n’ekyokutaano. Sizoni eyookusatu ebintu bikyuseemu era ng’okuwona okusalwako, kijja kuba kyamagero kubanga be bakwebedde ku kimeeza kya kkiraabu e 16 nga balina obubonero butaano mu mipiira 15.
Mbabazi yabaddukako dda n’agenda ku Vipers n’abasambi ab’amanya nabo ne bamugoberera ng’afulula. Baatuse n’okukubwa Kitara 7-1 nga baali abasambi munaana bokka mu kisaawe nga tekimanyiddwa oba mu kitundu ekyokubiri baneesitula ne bawona.

Bul ewanise ebbango
Batono abaawa Bul omukisa okukulembera ekimeeza nga bwe guli essaawa eno. Omutendesi wa Bul Abbey Kikomeko yajja amazeeko kukola kitakolekangako – okubawanguza ekikopo kya liigi. Nile (yasanaawo), ye kkiraabu okuva e Jinja eyasemba okuwangula ekikopo kya liigi mu 1980. Ku bubonero 33 okuva mu mipiira 15, Bul esinga Vipers eyookubiri era abalina ekikopo obubonero busatu nga bakubiddwamu ebiri gyokka – UPDF ne Gaddafi – era nga beewera kudda na bukambwe mu kitundu ekyokubiri. Abasambi abalina obumanyirivu nga Alex Kitata (ggoolo munaana), Douglas Muganga, George Kasonko ne Tom Ikara be bamu ku bafudde Bul ensonga wadde abamu bakyakiremedde nti ‘njovu’ ensawa yonna egenda okuva ku muti egwe.

Vipers ekyaleebya abagoba abatendesi
We twogerera nga Mbabazi y’ali mu mitambo gya Vipers oluvannyuma lwa Leonard Neiva okuva e Brazil okufuumuulwa nga tannabugumya na mbooge. Neiva, okufaananako ne banne abaagobwa nga tebannaweza mwaka ku butendesi e Kitende, yalemwa okuwa Vipers ensamba, yakubwa bubi nnyo Bul awaka ate nga n’abasambi bamuyisaamu amaaso ekyawaliriza nnannyini kkiraabu Lawrence Mulindwa, atasaagira mu kuwuuba kabazzi, okumufuumuula.
KCCA nayo yabisibirako Omuportugal Sergio Traguil n’ereeta Abdallah Mubiru agezezzaako okugisisimula. URA yassa Fred Muhumuza amayinja n’ereeta David Obua abawadde ‘vvayibu’ so nga ne Express James Odoch yamusikiza Alex Isabirye.

Isabirye ogwa Express agukakasizza
Waliwo okwewuunya nga Isabirye aweereddwa endagaano ya mwezi gumu gwokka okuzuukusa Express mu tulo Odoch mwe yali agitadde. Mu mipiira mukaaga egyali mu mwezi ogwo, Isabirye yakubiramu NEC, Vipers, Gaddafi ne Busoga United n’akubwamu ebiri – SC Villa ne Kitara.
Abawagizi baasabiddewo abatwala ttiimu okuwa Isabirye, eyawangulira Vipers ekikopo kya liigi ne Uganda Cup sizoni ewedde mu myezi ebiri gyokka, endagaano empaavu asobole okubazza ku mugendo ogulwanira ebikopo.

Alex Isabirye yawangudde ena mu bbanga lya mwezi gumu.

KCCA 3-2 URA gwabadde gwa kalango
Tewali kubuusabuusa embirigo ya KCCA ne URA e Lugogo, batabani ba Abdallah Mubiru gye baawangula 3-2, ekyaleebya endala mu mipiira egisinze okunyuma mu kitundu ekisooka. Mubiru ne Obua beebala omupiira ate nga bagatta okunyumisa, okuvuganya n’okulumba ekyaleka abalabi bangi ku bunkenke n’enduulu. N’ogwa Bulu gwe yalumba Vipers n’egiwuula 3-2 ku St Mary’s Stadium e Kitende gukyayogeza bangi obwama.

Ashraf Mugume yakwata amakkati mu gwa KCCA ne URA.

Olutalo lw’abateebi lukuze
Kizibu okusonga ku ani anaatwala engatto y’omuteebi asinze sizoni eno. Waliwo n’okulowooza nti anaasinga ajja kuba ayisizza mu ggoolo e 13 Allan Kayiwa eyali owa Express ze yateeba sizoni ewedde okwetikka engatto. Nelson Senkatuka (ggoolo 10), Fred Amaku (8), Alex Kitata (8), Shaban Mohammad (8), Isaac Wagoina (7), Cromwel Rwothomio (6) ne Paul Mucureezi (5) be bakulembedde olutalo lw’engatto eno.

Baddiifiri bakyabulamu
Wadde wabaddewo okulongoosa mu nnamula y’emipiira, naye era wakyaliwo okukiika ensingo mu baddiifiri abamu engeri gye bakuttemu emipiira egimu ekireeseewo obuvuyo.
Fufa yayanukudde na kugoba baddiifiri abamu nga Juma Osire, eyavuluga ogwa Vipers ne Kitara ng’akola ng’omuwuubi w’akatambaala wabula ng’ekyalina okukola ennyo okutaasa embeera. Waliwo abawagizi ba Express abaamalira essungu lyabye ku muwuubi w’atambala Fahd Sekayiba nga bagamba yabasaliriza nga basamba UPDF e Bombo wabula yabasiba mu kkomera ate ne bakaligibwa obutadda mu mupiira.

Bamusaayimuto basitudde enkundi
Ku bavubuka abato nga: Patrick Kakande (SC Villa), Alpha Ssali (Express), Darius Ojok (Maroons), Martin Aprem (Bul), Joel Sserunjogi (KCCA), Geoffrey Ssekibengo (URA) ne Arnold Odong (SC Villa) kkiraabu nnyingi kwezisibidde olukoba.

dbbbosa@ug.nationmedia.com

Denis Bbosa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *