
Empaka za FA Cup zigenda kutojjera olunaku lwa leero nga mu gigenda okuzannyibwa Crystal Palace yakuttunka ne Everton. Wabula olwenkya ogwa Tottenham ne Burnley nagwo gwakunyuma nga bano banoonya kuwangula kikopo kino oluvannyuma lw’emyaka egisoba mu kkumi nga tebakikwatako. Ebikwata ku nsiitaano za FA Cup bingi tubikuleetedde.
Mu Uganda Premier League Bul FC ebadde etambudde bulungi mu sizoni esoose era omutendesi Abbey Kikomeko afuuyirira kagalo ne ku Lwomukaaga bawangule bwe banaaba bakyazizza Mbarara City .
URA nayo mu kiseera kino esitudde omutindo wansi wa David Obua era ku Ssande baakuttunka ne SC Villa. Ebikwata ku liigi y’eggwanga eno nabyo tubikuleetedde.
Mu ngeri y’emu liigi y’omupiira gw’abakyala Fufa Womens’ Super League yazzeemu ng’olunaku lw’eggulo Kampala Queens yattunse ne Kawempe Muslim.
Enzannya endala zaakubeerayo wiikendi eno era tuzikuleetedde mu bujjuvu.
Emboozi endala nnyingi ezikwata ku by’emizannyo ebya wano nazo tuzikuleetedde. Soma otegeere ebigenda mu maaso mu nsi y’ebyemizannyo.
Omukugu waffe mu kuddamu ebibuuzo naye takwerabidde olwaleero. Bo abakuteebera mu bbeetingi ne leero bakuleetedde emipiira mingi. Beekwate osobole okulya ku ssente.

