Manchester United enoonya kweddiza FA Cup naye yaakusanga okuziyizibwa kwa Tottenham ku Lwomukaaga luno bw’enaaba ebakyalidde mu mpaka zino.
Tottenham tebadde mbi sizoni eno naddala mu Premier League era wadde ebadde n’ebizibu omuli obuvune, bali mu kifo kyakutaano mu liigi.
Kyokka yo Man City wadde toyinza kugibuusa maaso eri mu kifo kyakubiri emabega wa Liverpool wadde ng’ekyalinayo omuzannyo.
Kitegeeza nti kiraabu zombie za maanyi era enaasinga okubeera eneeegefu esuubirwa okuwangula ensiitaano eno.
Tukuleetedde emboozi endala okuva mu liigi ez’enjawulo mu Bulaaya.
Mu ngeri y’emu Uganda Premier League enaatera okuddamu era tukuleetedde kkiraabu ez’enjawulo kiki kye zibulamu naddala mu bazannyi nga ziteekeddwa okugenda mu katale okwetereeza.

Liigi y’omupiira gw’abakyala ey’eggwanga nayo kati yawumuddemu oluvannyuma lw’ekitundu ekisoose. Tukuleetedde emboozi ku mukwasi wa ggoolo Adeke owa Kawempe Muslims. Ab’ensero nabo baddamu olunaku olw’enkya e Lugogo.
Uganda yakuttunka ne Australia mu luzannya olusembayo mu Netball Nations Cup ku Lwomukaaga e Leeds mu Bungereza . Tukuleetedde n’emboozi nnyingi ddala eza wano omuli ebikonde ne Table Tennis. Mu ngeri y’emu n’abakugu mu bbeetingi tebakwerabidde.

 

BoldThemes

2 thoughts on “Omuliro gwakwaka mu FA Cup

Leave a Reply to Burnice Kuphal Cancel reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *