ENSISINKANO
Osasuna 1-2 Barcelona
Barcelona 1-0 Osasuna
Osasuna 1-2 Barcelona
Barcelona 4-0 Osasuna
Barcelona 2-2 Osasuna

We twaggidde mu kyapa eggulo nga Real Madrid yeetegekera muliraanwa Atletico Madrid mu semi ya Spanish Super Cup mu Al-Awwal Park Stadium mu Saudi Arabia yenna eyayiseeko waakuttunka n’omuwanguzi wakati wa Barcelona ne Osasuna, ezittunka leero ekiro. Ekikopo kino kyalinga wakati w’omuwanguzi ttiimu ewangudde La Liga n’ewangudde Copa Del Rey.

Naye kati baagattamu ttiimu endala ezikutte ekyokubiri mu mpaka zombi, oba eziddiridde. Ye nsonga lwaki Atletico nayo mw’eri ate nga Athletic Bilbao Osasuna gye yakuba ku semi ya Copa del Rey, teriimu.

Real yakuba Barcelona 4-0 ne yeesogga fayinolo ya Copa del Rey mwe yakubira Osasuna 2-1.
Sizoni ewedde Barcelona ye yatwala Spanish Super Cup bwe yakuba Real 3-1 e Saudi Arabia. Barcelona nga bulijjo embiranye yaayo ne Real teggwa. Anti buli emu eyagala buli kikopo kwe zivuganya y’eba ekiwangula. Leero Barcelona teri ku ffoomu naye tekigigaana kwekungaanya n’ekiwangula. Naye esooke ekube Osasuna.

Mu byafaaayo Barcelona, nga bulijjo, y’erina enkizo. Mu nsisinkano 43 eziseembyeyo ewanguddeko 27, Osasuna mukaaga ate 10 maliri. Mu kugabana emipiira gino gitera okubaamu ggoolo 3.02.

Iñigo Martínez, João Cancelo beegasse ku balwadde ba Barcelona, naye Osasuna ye ttiimu Joao Felix gy’asinga okuteeba. Yaakagikuba ggoolo ttaano. Ekitegeeza Osasuna erina okumwerinda nnyo.

Wabula ne Barcelona erina okwerinda muyizzitasubwa Ante Budimir, eyaakateebera Osasuna ggoolo mwenda mu liigi.

Mu liigi, Girona erina omukisa okweyawula ku Real bwe benkanya obubonero 48 ku ntikko ya La Liga. Girona ekyaza Almeria, esembye wansi, era teri nsonga lwaki tefuna bubonero busatu.

assemugabi@ug.nationmedia.com

ABDUL-NASSER SSEMUGABI

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *