
LWAMUKAAGA, JANUARY 13
Chelsea vs. Fulham (Ssaawa 9.30)
Newcastle vs. Man City (Ssaawa 2.30)
SSANDE, JANUARY 14
Everton vs. Aston Villa (Ssaawa 11.00)
Man Utd vs. Tottenham (Ssaawa 1.30)
MMANDE, JANUARY 15
Brighton vs. Luton Town (Ssaawa 4.45)
Empaka za Premier League ziddamu okubumbujja mu mwaka omupya wiikendi eno. Ku ntikko, obubonero mukaaga bwe bwawula ttiimu ettaano ezisooka.
Manchester City, ewangudde liigi emirundi etaano mu sizoni omukaaga ezisembyeyo, si y’eri ku ntikko.
Wabula, Liverpool ya Jurgen Klopp yeekulembedde ku bubonero 45 okuva mu mipiira 20.
Aston Villa yaakubiri ku bubonero 42 ate City, ezannye emipiira 19 era balina 40 mu kyokusatu. Ekimu ku bikulu eri Pep Guardiola omutendesi wa City kwekweddiza ekikopo kino.
Newcastle vs. Man City
Okwawukanako ne sizoni ezisembyeyo, City egudde ebigwo ebiwerako era bakubiddwa emipiira esatu olwo n’amaliri enfunda nnya mu liigi sizoni eno.
Kati Guardiola atunuulidde okulinnya ggiya ennene olwo baddeyo ku ntikko.
Ekibalo kino kitandikirawo ku Lwomukaaga nga City ekyalidde Newcastle United ku St James’ Park.
Ebya Newcastle nabyo si birungi. Abakungu ku kkiraabu eno baagala kugoba mutendesi Eddie Howe ku mulimu oluvannyuma lw’okuwangula emipiira esatu gyokka mu bikopo byonna okuva mu ntandikwa ya December.
Mu liigi, Newcastle erina obubonero 29 mu kifo kyamwenda. Naye era Guardiola anoonya okwesasuza Howe kubanga City yawanduka mu mpaka za Carabao Cup lwa kukubwa Newcastle 1-0 eyateebwa Alexander Isak nga September 27.
Ppuleesa nnene ku Howe kubanga ono awangudde emipiira ebiri gyokka; 1-0 ku Manchester United ne 3-0 ku Fulham olwo nebakubwa etaano mu gya liigi omusanvu egisembye.
Guardiola era asekera mu kikonde kubanga omuwuwuttanyi Kevin de Bruyne akomyeewo okuva ku buvune era ono yakoze ggoolo nga City ekuba Huddersfield Town 5-0 mu FA Cup ku Ssande. Okudda kwa De Bruyne kugenda kwongera City embavu mu kaseera w’ebamwetaagira. Newcastle nayo ebonyebonye n’obuvune mu ttiimu wabula kati Isak, eyateebye ggoolo ebbiri nga bakuba Sunderland 3-0 mu FA Cup, ye mulamu era Miguel Almiron ne Anthony Gordon basuubirwa okumuyambako.
Man United vs. Tottenham
Ku Ssande, Manchester United nayo etunuulidde okwesasuza Tottenham Hotspur eyabakuba 2-0 e London ku lunaku olwokubiri mu liigi.
Era kuno omutendesi Ange Postecoglou kweyazimbira okwambuka ku ntikko ebiseera ebyo. Wabula, kati Tottenham eri mu kifo kyakutaano ku bubonero 39, era basingako Manchester United eri mu kyomunaana obubonero munaana.
Obuzibu bwa Postecoglou buli ku bazannyi kubanga talina Pape Sarr ne Yves Bissouma nga bano bagenze mu mpaka za Africa Nations Cup mu Ivory Coast ate Son Heung-min naye yagenze mu Asia Cup ne South Korea e Qatar.
Tottenham era erina abazannyi abawerako mu ddwaliro era kino ky’awalirizza Postecoglou okufuna omuteebi Timo Werner ku bbanja okuva mu RB Leipzig e Bugirimaani.
United nayo tegenda kubeera ne Andre Onana wamu ne Sofyan Amrabat abagenze mu mpaka za Afcon ekitegeeza nti mu ggoolo, Altay Bayındır yandizannya omupiira gwe ogusooka. Mu makkati, United esuubira Casemiro okukomawo omwezi guno wabula musaayimuto Kobbie Mainoo ali ku mutindo.
NEWCASTLE VS. MAN CITY
EGISEMBYEYO
NEWCASTLE
Sunderland 0-3 Newcastle
Liverpool 4-2 Newcastle
Newcastle 1-3 Nottingham Forest
Luton Town 1-0 Newcastle
Chelsea 2-1 Newcastle
MAN CITY
Man City 5-0 Huddersfield
Man City 2-0 Sheff Utd
Everton 1-3 Man City
Man City 4-0 Fluminense
Urawa Diamonds 0-3 Man City
DARREN ALLAN KYEYUNE
Newcastle 1-0 Man City
Man City 1-0 Newcastle
Man City 2-0 Newcastle
Newcastle 3-3 Man City
Man City 5-0 Newcastle
1 X 2
5.20 4.40 1.58
Recommended bet
Home team to score NO 2.40:1
Stats provided by Fortebet!
dkyeyune@ug.nationmedia.com

