ENSISINKANO
Bayern 1-1 Hoffenheim
Hoffenheim 0-2 Bayern
Hoffenheim 1-1 Bayern
Bayern 4-0 Hoffenheim
Bayern 4-1 Hoffenheim

Oluvannyuma lw’okuwummulamu okuva mu makkati ga December, Bayern Munich ne Bayer Leverkusen zizzeemu okuttunka nga zirwanira German BundesligaLeverkusen yeekulembedde n’obubonero 42 mu mipiira 16 ate Bayern yaakubiri ku bubonero 38 mu mipiira 15. Ekitegeeza ne Bayern ne bw’ekuba Hoffenheim enkya, eba terinnya ku ntikko ya kimeeza, naye Leverkusen erina okukuba Augsburg ku Lwomukaaga, esobole okusala ku ppuleesa ya Bayern.

Bayern enoonya liigi ya 12 mu sizoni 12 naye Leverkusen, etendekebwa Xabi Alonso, omu ku bazannyi abaawangulira Bayern ebimu ku bikopo ebyo, efuuse ezzike.
Sizoni w’ewummulidde Leverkusen yakolayo amaliri ga mirundi ebiri naye era ye ttiimu yokka etannakubwamu mu Bulaaya yonna.

Mu kitundu kino ekyokubiri, omutendesi Thomas Tuchel alina okutetenkanya alabe nga Bayern edda engulu, oba asi kkyo omulimu ayinza okugufiirwa.

Kino tutandika kukiraba nkya nga Bayern ekyaza Hoffenheim. Mu byafaayo, nga bulijjo, y’erina enkizo. Mu nsisinkano 32, Bayern ewanguddeko 21, Hoffenheim ena, ate musanvu maliri. Mu kugabana omupiira guno gutera okubaamu ggoolo 3.31. Mu mipiira etaano gye zaakasemba okusisinkana, Bayern ewanguddeko esatu. Naye lwe zaasemba okusisinkana nga April 15, 2023, zaagwa maliri 1-1.

Singa ne guno guggwa gutyo, Bayern eba mu kattu, na ddala singa Leverkusen ekuba Augsburg oba ne Stuttgart singa ekuba Borussia Monchengladbach anti erina obubonero 34, Bayern 38.

Bayern ggoolo eziteeba kubanga Harry Kane abateebi abaleebya ne ggoolo 21 nga Serhou Guirassy, owa Stuttgart amuddiridde, alina 17. Leroy Sane naye yaakateeba ggoolo munaana ate ng’akwatagana bulungi ne Kane, kale Hoffenheim erina okubeerinda. Bayern erina okwerinda Andrej Kramaric, eyaakateegera Hoffenheim, ggoolo mukaaga n’akolera banne ggoolo emu. Maximilian Beier naye akoze bw’atyo ate Grischa Promel ateebye bbiri, n’akola nnya.

Deniz Undav alina okuziba eddibu awavudde Guirassy Stuttgart esobole kusigala ku mulamwa gw’okumalira mu bana abasooka. Mu ngeri y’emu ne Florian Wirtz ne Alex Grimaldo balina okwekwasakwasa bateebe ggoolo ezinaakuumira Leverkusen ku ntikko nga Victor Boniface, eyaakateeba ggoolo 10, azannyira Nigeria mu Afcon.

Kane ayagala ngatto

Omungereza Harry Kane, yaakeegatta ku Bayern, naye yaakateeba ggoolo 21 mu mipiira 15. Serhou Guirassy, owa Stuttgart, alina 17 naye yagenze kuzannyira Guinea mu African Cup of Nations, ekiwa Kane ebbeetu okuteeba nga teri avuganya. Lois Openda, owa RB Leipzig yawezezza 11.

Boniface, owa Leverkusen, alina 10. Jonas Wind, owa Wolfsburg ne Undav, owa Stuttgart, balina mwenda. Leroy Sane, owa Bayern ne Ermedin Demirovic, owa Augsburg, balina munaana.
Álex Grimaldo, owa Leverkusen, Omar Marmoush, owa Frankfurt ne Alassane Pléa, owa Borussia Mönchengladbach, ne Marvin Ducksch, owa Bremen, balina musanvu.

Maximilian Beier, owa Hoffenheim ne Tim Skarke, owa Darmstadt, balina mukaaga.
Eren Dinkci, owa Heidenheim, Jonas Hofmann, owa Leverkusen, Jan-Niklas Beste, owa Heidenheim, ne Tim Kleindienst, owa Heidenheim, Niclas Füllkrug, owa Dortmund, ne Andrej Kramaric, owa Hoffenheim, Frimpong, owa Leverkusen, Takuma Asano, owa Bochum, balina ttaano.

assemugabi@ug.nationmedia.com

ABDUL-NASSER SSEMUGABI

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *