
EGIGGULAWO
LWAMUKAAGA, JANUARY 13
Ivory Coast vs. Guinea-Bissau (Ssaawa 2.00)
SSANDE, JANUARY 14
Nigeria vs. E. Guinea (Ssaawa 8.00)
Egypt vs. Mozambique (Ssaawa 11.00)
Ghana vs. Cape Verde (Ssaawa 2.00)
MMANDE, JANUARY 15
Senegal vs. Gambia (Ssaawa 8.00)
Cameroon vs. Guinea (Ssaawa 11.00)
Algeria vs. Angola (Ssaawa 2.00)
Oluvannyuma lw’okulindira emyezi mukaaga, empaka za Africa Nations Cup (Afcon) nate zikomyewo.
Ivory Coast efunye omukisa ogwokubiri mu byafaayo okutegeka empaka zino okuva 1984. Ku mulundi guno, amawanga 24 gagenda kubbinkana mu bibuga bitaano eby’enjawulo.
Enjovu mu ddiiro
Ivory Coast ewangudde ekikopo kino enfunda bbiri; mu 1992 ne 2015. Era omugigi ogwalina abazannyi nga: Didier Drogba, Kolo Toure, Yaya Toure, Salomon Kalou n’abalala gugenze gugwaawo. Ku ttiimu eyawangula ekikopo kya 2015, kati wasigaddewo Serge Aurier era ye kapiteeni waabwe kati ne Max Gradel. Wabula okusinziira ku ngeri ttiimu bw’etegekeddwa, era balina embavu mu makkati n’olugoba oluteebi.
Bano bayungudde amagye omuli: Franck Kessié ne Seko Fofana abazannyira mu Saudi Arabia ate mu maaaso, Jonathan Bamba, Sébastien Haller, Simon Adingra ne Nicolas Pépé eyali mu Arsenal nago si manya matono.
Senegal ekyaliwo, Salah tateredde
Ebweru wa Ivory Coast, amaaso era gakyali ku Senegal abalina ekikopo kino kye baawangula mu 2022 bwe baakuba Misiri mu fayinolo e Cameroon. Senegal ekyalina omutendesi Aliou Cisse ate ne wankubadde ekinyusi kya Edouard Mendy mu ggoolo, kapiteeni Kalidou Koulibaly, Idrissa Gueye, Sadio Mané n’abalala bakyaliwo, ate beeyongeddeko Pape Sarr wakati n’omuteebi Nicolas Jackson. Senegal eri mu kibinja C omuli: Cameroon, Gambia ne Guinea. Cameroon yo erina ebikopo bitaano y’ekyasinze okukiikirira Africa mu mpaka za Fifa World Cup emirundi emingi.
Omulala ku batunuulidde okusuuza Senegal ye Misiri. Bano tebaali basanyufu bwe baakubwa Senegal ku ppenati era kati Misiri egenze emyaka 14 nga tebalaba ku ssanyu mu kikopo.
Omulembe gwabwe gukulembeddwa Mohamed Salah omuteebi wa Liverpool era ono akubiddwa mu fayinolo bbiri; eya 2022 ne 2017 e Gabon.
dkyeyune@ug.nationmedia.com

