Ayokya nga lyanda. Hary Kane yalaze nti sizoni ye esose ebweru wa Bungereza yakutteyo. Yaakateebera Bayern Munich ggoolo 31 mu mipiira 26 sizoni eno. We twasembera okukola emboozi eno mu November 2023, Omungereza Harry Kane, owa Bayern Munich, yali akulembedde banne ku ggoolo 17. Serhou Guirassy, owa Stuttgart, yalina ggoolo 15. Wano twali tukuba ttooci...
Badminton n’ obugaali bisoomozezza ebikondi
Bulijjo mu mpaka z’emizannyo emingi okugeza Olympics, Commonwealth, African Games, ebikonde n’emisinde gye mizannyo egikyasinze okuwangulira Uganda emidaali. Okugeza mu Olympics emidaali gya Uganda e 11, okuli ne zzaabu nnya, gyonna giva mu bikonde na misinde ate nga Uganda ekiik ku mizannyo emirala ng’okuwuga, okusitula obuzito, n’ emirala. Mu African Games, ezaali ziyitibwa All African...
Paul Put atandise egyamuleeta
Uganda Cranes yakukozesa akaseera kano nga liigi z’e Bulaaya ziwumuddemu okuttunka mu nzannya ez’omukwano bbiri. Olunaku lw’enkya Uganda yakuttunka ne Comoros ate nga wayise ennaku nnya baakuzannya ne Morocco. Enzannya zombi zaakubeera ku kisaawe kya Stade Grande Marrakech e Morocco. Omutendesi Paul Put bwe yali aweebwa omulimu, yalagibwa okutereeza ttiimu era kino kirabika ky’agezaako okukola....
Emisinde gy’amazaalibwa ka Kabaka gisembedde
Ebula wiiki bbiri zokka empaka z’emisinde gy’okujaguza amazaalibwa gwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ag’omulundi ogw’e11 zigguke . Ne kumulundi guno, empaka zino zaakutambulira ku mulamwa ogw’okukomya obulwadde bwa ssiriimu obutasukka mwaka gwa 2023. Mu mulamwa guno kati ogumaze emyaka etaano nga kwe kutambulira emisinde gino, abasajja era bakubirizibwa okubeera abasaale mu kulaba ng’omwana ow’obuwala...
Put asibidde ku bazannyi: ABAVUDDE E BULAAYA OKUTUUZA GHANA
EGY’OMUKWANO LWAKUTAANO Uganda vs Comoros LWAKUBIRI March 26: Ghana vs Uganda 2026 WC QUALIFIERS JUNE 2024 Uganda vs Botswana Uganda vs Algeria AFCON 2025 OKUSUNSULAMU Omutendera ogusooka: March 18-26, 2024 GHANA VS. UGANDA BWE ZIZZE ZISISINKANA 07/10/17: Uganda 0-0 Ghana 17/01/17: Ghana 1-0 Uganda 07/10/16: Ghana 0-0 Uganda 15/11/14: Uganda 1-0 Ghana 06/09/14: Ghana 1-1...
SEMUDDU AGOBA LIKODI YA E.AFRICA
ABALI MU MIGWA LEERO KKIRO 71 Muzamir Semuddu (Uganda) vs Omar Elawady (Misiri) KKIRO 54 Amina Martha Faki (Kenya) vs Shukura Kareem (Nigeria) Emyaka 17 egyakayita okuva omulwanyi okuva mu East Africa lwe yawangula omudaali gwa zzaabu mu mpaka za African Games. Okuva olwo abazannyi okuva mu Uganda, Kenya, Tanzania bazze bagwa omutindo, mu bikonde...
POLAND, KAZAKHSTAN ZIGOBA TTIKETI
Bagenda kwegwako. Musaayimuto Jamal Musiala owa Bugirimaani ne Kylian Mbappe owa Bufalansa bagenda kunoonyeza ttiimu zaabwe ggoolo EGYA WIIKENDI EURO 2024 QUALIFIER LWAKUNA, MARCH 21 Georgia vs. Luxembourg (Ssaawa 2.00) Wales vs. Finland (Ssaawa 4.45) EGY’OMUKWANO LWAKUTAANO, MARCH 22 Norway vs. Czech Rep. (Ssaawa 2.00) Netherlands vs. Scotland (Ssaawa 4.45) LWAMUKAAGA, MARCH 23 Ireland...
EZA FA CUP ZIGOBYE BUMALE
Empaka za FA Cup zigenda kutojjera olunaku lwa leero nga mu gigenda okuzannyibwa Crystal Palace yakuttunka ne Everton. Wabula olwenkya ogwa Tottenham ne Burnley nagwo gwakunyuma nga bano banoonya kuwangula kikopo kino oluvannyuma lw’emyaka egisoba mu kkumi nga tebakikwatako. Ebikwata ku nsiitaano za FA Cup bingi tubikuleetedde. Mu Uganda Premier League Bul FC ebadde etambudde...
She Cranes eri Bungereza
Ttiimu ya Uganda ey’okubaka the She Cranes olunaku lw’eggulo yatandise empaka za Netball Test Series e Bungereza. Olunaku lwenkya bano baakuddamu okuttunka ne Wales mu luzannya olwokubiri olwo ku Lwomukaaga bamalirize empaka zino. Uganda ekwata kyamusanvu mu mawanga agazannya netball munsi yonna kyokka yo Wales eri mu kyamwenda. Abazannyi ba Uganda bamalirivu okulaba nga bawangula...
Kampala Queens eri mu ‘kkomera’
FUFA WOMEN SUPER LEAGUE LWAMUKAAGA UCU Lady Cardinals vs Rines SS SSANDE Kampala Queens vs She Maroons Wakiso Hill vs Lady Doves Asubo Gafford Ladies vs Kawempe Muslim Ku Ssande eno, ekibanyi kyakugwa n’amenvu nga kkiraabu ez’enjawulo ezizannyira mu liigi y’eggwanga ey’abakyala, Fufa Women Super League zittunka ku bisaawe eby’enjawulo okwetooloola eggwanga. Ku Philip Omondi...











